Psalms 44

Ya mukulu wa bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

1 aAyi Katonda, twawulira n’amatu gaffe,
bajjajjaffe baatubuulira,
ebyo bye wakola mu biro byabwe,
mu nnaku ez’edda ezaayita.
2 bNga bwe wagoba amawanga mu nsi
n’ogiwa bajjajjaffe,
wasaanyaawo amawanga
n’okulaakulanya bajjajjaffe.
3 cEkitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola;
wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo
awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.

4 dGgwe oli Kabaka wange, era Katonda wange;
awa Yakobo obuwanguzi.
5 eKu lulwo tunaawangulanga abalabe baffe;
ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.
6 fDdala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,
n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.
7 gWabula ggwe otulokola mu balabe baffe,
n’oswaza abo abatuyigganya.
8 hTwenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna.
Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.

9 iNaye kaakano otusudde ne tuswala;
era tokyatabaala na magye gaffe.
10 jWatuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba,
abatuyigganya ne batunyaga.
11 kWatuwaayo okuliibwa ng’endiga;
n’otusaasaanya mu mawanga.
12 lWatunda abantu bo omuwendo mutono nnyo,
n’otobaako ky’oganyulwa.

13 mWatufuula ekivume eri baliraanwa baffe,
ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.
14 nOtufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna;
era abantu banyeenya emitwe gyabwe.
15Nswazibwa obudde okuziba,
amaaso gange ne gajjula ensonyi,
16 oolw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu,
olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.

17 pEbyo byonna bitutuseeko,
newaakubadde nga tetukwerabidde,
wadde obutagondera ndagaano yo.
18 qOmutima gwaffe tegukuvuddeeko,
so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.
19 rNaye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege,
n’otuleka mu kizikiza ekikutte.

20 sDdala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe,
ne tusinza katonda omulala,
21 tekyo Katonda waffe teyandikizudde?
Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.
22 uKatonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba,
era tuli ng’endiga ez’okusalibwa.

23 vGolokoka Ayi Mukama, lwaki weebase?
Zuukuka! Totusuula Ayi Mukama!
24 wLwaki otwekwese?
Lwaki tofaayo ku kulumwa kwaffe n’okujoogebwa?

25 xDdala ddala tusuuliddwa mu nfuufu;
tuli ku ttaka.
26 yGolokoka otuyambe;
tulokole olw’okwagala kwo okutaggwaawo.
Copyright information for LugEEEE